Tobikuliriza Lyrics
Guno omulamwa nga Innocent tegusuulwa
Ngukubye nga topic enkulu kasente
Ka baby kange nako nga Anne kansiime (Eyo Scoffi)
Genius Omuzira
Kano ndabye tekalinda
Ne nsalawo okkanguyira
Nga ndaba bwe nkalwamu ssi kuba abazigu bakanswama
Ngambye nkakubye ku lwange era
Ssirina beef nti eno
Ebikalimu bulimba by'owulidde tobikuliriza
Chance Nalubega gye namufunamu yankolera
Nali kaana kato Lubwama n'ampeerera
Nga mu bonna nze nina Roz by'ayagala
Mu kuvuganya ne Tommy race ne nziwangula
Ku ky'okupambana ye Julie muteesaasira
Era Mariam mulinde nga yeevulumula
Ku nsi kuno ekitiisa Betty mpologoma
Ne bw'aba n'oluyombo ku Hellen lukoma
Langi esinga okkolera Zanie brown
Ekitava ku mumwa gwa Mikie wine
Obulungi bw'eba lead ya Jazmine
Ye dem akubisa ne Maulana rain
Nange amataala okufaanana nga Beenie ganta
Mu love bwe mbeera bread Serena butter
N'ewaka wannyumira Karitas k'aliyo
Kkapa kati zindyako ennyama ne sifaayo
Kano ndabye tekalinda
Ne nsalawo okkanguyira
Nga ndaba bwe nkalwamu ssi kuba abazigu bakanswama
Ngambye nkakubye ku lwange era
Ssirina beef nti eno
Ebikalimu bulimba by'owulidde tobikuliriza
Ssiriva Kyagulanyi we yampa ka kibeere ki
Ebyange binfaanana tebifaanana Richie
Buli cinema gye ndaba ku TV nka
Bwe ndaba bwenti ku Cindy sanyu lyokka
Bw'osalawo nti okoppe ku Shidy sitayilo
Awo oba owakudde ku David lutalo
Mu kulwana ekyewagisa Ronald mayinja
Sophie Gombya nabukalu era ensulo tajja
Desire Luzinda gye nkulinamu kuva buto
Nalemwa n'okubalira nga Zahara total
Tamale emirundi gye bamufeze nga embuto
Alaba nga eky'okwesonyiwa Jackie kizito
Mugisha muntu wa mivuyo ppaka na kati
Katono balwane ne Miles lwa miti
Nzize okkuba ekigambo oluggi Naava aggule
Gwe awulira obuvumu nga waguma kisuule
Kano ndabye tekalinda
Ne nsalawo okkanguyira
Nga ndaba bwe nkalwamu ssi kuba abazigu bakanswama
Ngambye nkakubye ku lwange era
Ssirina beef nti eno
Ebikalimu bulimba by'owulidde tobikuliriza
Summary Matovu gwe yakola nga namukoppa
Josephat seguya gwe ne bw'otampa
Nayiira Ali zi flow ne nteekamu n'ejjoogo
Kuba rap za GNL zamba nga mu bwongo
I would have chosen Becky tukole nga omukwano
Naye kati atijjisa Hanson ate bali luno
Mutiibwa ekyakwagaza Michael kinene
Wabula temuva ku Mayanja liiso ddene (Big Eye)
Nze ku nsonga y'okkola effujjo steady
N'ebbala mu kisaati ndyoza tondagidde
Lumu nametta Zex bilangilangi
Nga olwo ekitulwanya ewa Sheila nva nnungi
Ku Flash love gye baamulaga mu tteppo
Mbu baali beegasse bakole ne Kazibwe couple!
Bw'otaba fool figure nga nayo teyakufa,
Tosobola kusabirira kalimu kange lwe kalifa
WATCH VIDEO
ABOUT THIS SONG
Release Year : 2021
Album : Tobikuliriza (Single)
Added By : Genius Omuzira
SEE ALSO
AUTHOR
GENIUS OMUZIRA
Uganda
James Kalyowa popularly known as Genius Omuzira is a Ugandan rapper and songwriter born on January 2 ...
YOU MAY ALSO LIKE