Emize Gy'abayizi Lyrics
Genius Omuzira
In another tune
Brian Beats kikube
Emize gy'abayizi
Yadde egimu saagilondoola, Gyennasimbako nnyo essira gye gino
Emize gy'abayizi, Gino gy'emize gy'abayizi
Muligamba nti akalenzi kaasama, naye nga koogezi ka nsonga
Emize gy'abayizi, Nkutte ku mize gy'abayizi
Abayizi balina emize egiwerako mu ssomero
Gwensookerako kwekukuba embeekuulo
Okutoloka nebeegendera mikyakalo
Okukoppa mu bibuuzo ekyo kitalo
Batafuta nnyo ekingere ekiri broken
Okukuba abasomesa obufaananyi bu cartoon
Babusseeko nno ewalungi naye ate mu zi kabini
Tebakomye awo ne bi nickname nebabatuuma
Abalenzi baakira nnyo mu ba newcomer
Suggestion box bassaamu gagambo ganene
Okutoloka okumpi n'essomero nebabbayo ffene
Vernacular speaker okumwambaza ekigumba
Abaana b'abasomesa eky'ensonyi ate beebasemba
Tolimusanga mu kibuuzo nga takomba pen
By'ajjuza nga talina paper ejjudde majaani
Nga nebw'aba akoppye atwaliramu n'erinnya
Yadde egimu saagilondoola, Gyennasimbako nnyo essira gye gino
Emize gy'abayizi, Gino gy'emize gy'abayizi
Muligamba nti akalenzi kaasama, naye nga koogezi ka nsonga
Emize gy'abayizi, Nkutte ku mize gy'abayizi
Ku talent show baimitatinga nnyo director
30% ewaka tebatuusa report
Omuwala bw'afuna olubuto tava mu sweater
Ensawo agiweekera maaso tebaluketta
Okukuba abazadde enjawulo ekyo baakikwata
N'asaba byebatamutumye nti babyagala
Okwekuba eŋŋuumi nga baliko gwebalwanira
Okumenya bu case saako n'okusomola
Ku University oli aggya neyefuula lecturer
Nga yesmartinze era nga kizibu omutegeera
N'abeweesa work n'ebitabo nemukuŋŋanya
N'abuuka nabyo n'atema ebyo n'akumpanya
Abawala beesooka nnyo obutanda bwa waggulu
Kibalwanya mu dom zaabwe nebakuba n'enduulu
Okufuka nga kubuliri nga ate gakulu
Negawa bu young akasente bugaanikire
Gatya embooko negefuula agakubiddwa lubaale
Kyokka ekinnuma g'egeesabika nga agawendule
Yadde egimu saagilondoola, Gyennasimbako nnyo essira gye gino
Emize gy'abayizi, Gino gy'emize gy'abayizi
Muligamba nti akalenzi kaasama, naye nga koogezi ka nsonga
Emize gy'abayizi, Nkutte ku mize gy'abayizi
Ku lunaku lwa VD beesunga nnyo okubakyalira
Batuula ku gate nebateega kwebalindira
Ba ssaagala kunaaba beekuba nnyo perfume
N'okkuba dry wash era beebamu
Badodginga preps nebalimba nti balwadde
Okutuuka late yadde mbadde nkyerabidde
Ebiwala ebinene biriira nnyo mu class
Biganza abasomesa nebabyongeza ne Marks
Food Doubling Club giyite FDC
Eyo okusinga ebaamu balenzi abali stubborn
Baawula ennyongeza abo nga omutumye ku canteen!
Beebamu abatega ne ku parade obulabirwamu
Mission nga kulingiza bawala na bamadam
Okusudiya bannabwe emiggo nga gibalya
Nebamuwaga nti metal kumbe yeegumya butaswala
Bonoona ebintu by'essomero mbu term egenda
Yadde egimu saagilondoola, Gyennasimbako nnyo essira gye gino
Emize gy'abayizi, Gino gy'emize gy'abayizi
Muligamba nti akalenzi kaasama, naye nga koogezi ka nsonga
Emize gy'abayizi, Nkutte ku mize gy'abayizi
WATCH VIDEO
ABOUT THIS SONG
Release Year : 2021
Album : Emize Gy'abayizi (Single)
Added By : Genius Omuzira
SEE ALSO
AUTHOR
GENIUS OMUZIRA
Uganda
James Kalyowa popularly known as Genius Omuzira is a Ugandan rapper and songwriter born on January 2 ...
YOU MAY ALSO LIKE