Home Search Countries Albums

Dunia Lyrics

Tugitandika na kukaaba nga batuzadde
Mu bulumi obw'ekitalo obuyitiridde
Tufundikira tetugiriimu nga tufudde
Ensi. Omuzira Genius
(Eyo Scoffi)

Dunia lugendo luwanvu naye teruwoneka
Lusingamu hard times zokka
Emmotoka gw'eva mikono y'atawanika
Ensonga ziizino, Lwaki bagidduka?
Ebirime tebikyadda ettaka lyafuluka
Akuwola ettaano ayagala omusingire maka
Amasomero ogamba geegaafuuka bank
Anti kati sente zonna gyeziggwera
Zebasaba zokka okwewandiisa edda zaali ziweerera
Okufuna omulimu omala kuwaayo misale
N'agukufunidde nga akucharginga ku salary
Aw'okuzimba kati ofuna foot bbiri
Kyokka nga abaana oyina lukunkumuli
Okutunda omusaayi business ekutte akati
Basaze bantu nebakuba n'obulatti
Tunaddawa mu Dunia ekalubye bweti

[CHORUS]
Ndi ku lugendo neenonya ngeri gyenfighter mu Dunia
Ndi ku lugendo neebuuza biki byengikolamu ebyange
Ndi ku lugendo Aaaahhh nwana kulaba nga nfunamu akalembereza
Neebuuza muno mu Dunia ddala mpiseemu ntya?

[VERSE TWO ]
Ndiba na kaki mu Dunia nze omuwejjere?
Nga buli kigirimu kyafuuka kya buseere
Obubbi muyyo sirina na bwenkinnyonnyola
N'omufu ali emagombe bamuziikula
Nebamujjamu sanduke mwali ne bagitwala
Okubuulira omusawo ekikuluma omala kusasula
Kyokka nga ne treatment takuwadde
Ku masomero n'atali mulekwa abika abazadde
N'alayira nga bwebaafa afune sponsor
Ne gw'osobezza akatini akazimbulukusa
N'agenda akuloopa mu mbuga afune z'akujjamu
Gw'osaba akuwole rupeer asooka zisuza ku bijja
Bank property for sale ogamba motto ya gwanga
Toyisa nnyumba bbiri nga tonnakisanga
Ebizimbe byetwegomba wansi bitudde ku buwanga
Genius Omuzira

[CHORUS]
Ndi ku lugendo neenonya ngeri gyenfighter mu Dunia
Ndi ku lugendo neebuuza biki byengikolamu ebyange
Ndi ku lugendo Aaaahhh nwana kulaba nga nfunamu akalembereza
Neebuuza muno mu Dunia ddala mpiseemu ntya?
Ndi ku lugendo neenonya ngeri gyenfighter mu Dunia
Ndi ku lugendo neebuuza biki byengikolamu ebyange
Ndi ku lugendo Aaaahhh nwana kulaba nga nfunamu akalembereza
Neebuuza muno mu Dunia ddala mpiseemu ntya?

[VERSE 3]
Tutuuse okwerya entama okusinziira bwendaba
Buli kimu kya kaweereege okukifuna kutoba
Gw'osaba akusalireko nga ogula abula na kkukuba
Abali ku myalo n'amaggi babula kugavuba
Akuyingiza ekkomera aba ayagala ovundireyo
Emirimu gyebalanga gyonna gya ntuuyo
Kyokka nga okola 24/7
Okufuna ogutamenya bya mwana w'ani
Olowooza okwetandika naye nebiwakana
Capital nga weetaagira ddala buwanana
Rent gw'osasula ng'amagoba tomufuna
Saako competition ereeta ne fitina
Amasanyu g'ensi nago gasikaasikanya
Z'obalira ekirala weesanga ozikyakadde
Tunaddawa mu Dunia ekambuwadde?
Nga n'atayina kiwandiiko ajja n'akufuumuula ku ttaka kw'owangalidde ye asimbe kalittunsi

[CHORUS]
Ndi ku lugendo neenonya ngeri gyenfighter mu Dunia
Ndi ku lugendo neebuuza biki byengikolamu ebyange
Ndi ku lugendo Aaaahhh nwana kulaba nga nfunamu akalembereza
Neebuuza muno mu Dunia ddala mpiseemu ntya?
Ndi ku lugendo neenonya ngeri gyenfighter mu Dunia
Ndi ku lugendo neebuuza biki byengikolamu ebyange
Ndi ku lugendo Aaaahhh nwana kulaba nga nfunamu akalembereza
Neebuuza muno mu Dunia ddala mpiseemu ntya?

Enjoy Synced Lyrics With Our Mobile App

Download on Google PlayGet it on App Store

WATCH VIDEO

ABOUT THIS SONG

Release Year : 2020

Album : Dunia (Single)

Added By : Omuzira

SEE ALSO

AUTHOR

GENIUS OMUZIRA

Uganda

James Kalyowa popularly known as Genius Omuzira is a Ugandan rapper and songwriter born on January 2 ...

YOU MAY ALSO LIKE