Home Search Countries Albums

Obugambo Bwaffe

MWALIMU SSOZI

Obugambo Bwaffe Lyrics


Tulina obugamba bwaffe obugambo obuwoomuwoomu
Bwe tutera okukozesa mu lugendo lwaffe
Bugambo buteeketeeke bubeerawo butunywezenyweze
Ng’eno bwetulwanalwana okuluggusa olugendo lwaffe
Obugambo buno bwafuuka na kitundu ku bulamu bwaffe
Buli lwe tubugambagana netubudding’ana nga muli tunywera
N’obumu kati bwafuukira ddala bwa bwannannyini ssebo
Oli okukakugamba amala kumanya nti gw’akagamba y’oyo
Ebyo byonna birungi era bigwanidde
Mu lutalo luno olunene feenna lwe twasikira
Naye ekikulu mu byonna ssi kwogera bwogezi
Netusaakaanya olwo netubifuula eng’ombo
Eng’ombo obugombo
Bw’onsanga n’ong’amba nti Maranatha, Maranatha
Okiggya ku mwoyo oba eba ng’ombo
Oba eba ng’ombo bugombo
Bw’onnamusaako nti mukama yeebazibwe, Hallelua aah
Okiggya ku mwoyo mutaayi wange, oba ng’ombo
Shallom shallom mirembe
Mirembe gy’otegeeza mbuuza
Twagalizaganenga emirembe nga tetukuusakuusa
Tunyiikire okulaba nga obugambo bwaffe tetubwonoona
Wano okubwogera ku munwa kyangu naye ekikulu ye mmeeme

Mukama bw’aba afuga atuula eri mu mutima munda
Olwo bwetwogera nti hozanna tuba tukitegeeza
Bweng’amba mukama mulungi
Nemuddamu nti ekiseera kyonna
Bwetubyatula wano ku mimwa naye mu mitima buli omu ali yekka
Hozanna hozanna kabaka Halleluia
Ffenna netusaakanya
Praise the Lord Amen Halleluia Amen

Bwetuba mu kusinza netuyimba obuyimba
Netunyweza ebigambo byaffe ebyo muli tutebenkera
Mukama agamba tufube okunywezagana n’ebigambo ebyo
Bikkakkanye ebiwundu n’okulumw kwetusanga mu nsi
Bakola kya maanyi abamukulembeza mu bigambo byabwe
Buli we babeera ne bamwogerangako nga bakakafu nnyo
Wabula emitima n’ebyo ebigirimu ye minzaani yokka
Teweeyibaala mbu olw’okwogera obulungi n’osiimibwa ensi
Mukama tumusuute era tumutendereze
Twatule by’akola ebinene era eby’amaanyi
Naye nga ebigambo byaffe bisimbuka mu mutima munda
Tuleke eby’obulombolombo eng’ombo obugombo
Bw’onsanga n’ong’amba nti Maranatha, Maranatha
Okiggya ku mwoyo oba eba ng’ombo
Oba eba ng’ombo bugombo
Bw’onnamusaako nti mukama yeebazibwe, Hallelua aah
Okiggya ku mwoyo mutaayi wange, oba ng’ombo
Shallom shallom mirembe
Mirembe gy’otegeeza mbuuza
Twagalizaganenga emirembe nga tetukuusakuusa
Tunyiikire okulaba nga obugambo bwaffe tetubwonoona
Wano okubwogera ku munwa kyangu naye ekikulu ye mmeeme

Enjoy Synced Lyrics With Our Mobile App

Download on Google PlayGet it on App Store

WATCH VIDEO

ABOUT THIS SONG


Release Year : 2020


Album : Obugambo Bwaffe (Single)


Added By : Farida

SEE ALSO

AUTHOR

MWALIMU SSOZI

Rwanda

...

YOU MAY ALSO LIKE