Ekyama Lyrics
Ekyama
Twasizza ekyama
Nakufuna ng’alonze akavangata
Bintu bya mutima nze saamanya eh!
Nagezaako dda byalema
Nga njagala mmanye (Tebyagala), kubyanika
Omukwano kawoowo maama k’okole otya!
Ne bw’osiba evvumbe bivaayo ne byeyasa
Nze nafumba luvuutu (saamanya)
Ebijja mu maaso (saamanya)
Nti aliba ani okulujjula?
Laba wuuno eno
Ebyali eby’ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Biri bye twakeeka
Ekyama, twasizza ekyama
By’ebifuuse ensonga
Ekyama, twasizza ekyama
Ebyali eby’ekyama aah
Ekyama, twasizza ekyama
Twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Omukwano mujoozi k’okole otya togwewala
Gwankwasa lumu ng’enjoka bwe zeeyisa
Nz’eyali yeemanyi mu laavu ssigonzebwa ah
Mpolampola omutima nga gubbibwa
Bwe nakuuma ebyama, ne bifuuka ebyama
Laavu ojooga, laba bw’onkuba engwala (ayi)
Baŋamba kawoowo, mukwano k’okole otya!
Nga nsibye evvumbe, guvuddeyo ne byeyasa
Ebyali eby’ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Biri bye twakeeka
Ekyama, twasizza ekyama
By’ebifuuse ensonga
Ekyama, twasizza ekyama
Ebyali eby’ekyama aah
Ekyama, twasizza ekyama
Twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Omukwano gwaffe
Y’empagi yaffe
Kwe twesibye, kwe twekuumidde
Olwazi olumpaniridde eh
Ssi masaali nti neeyisa
Ekyejo y’akinkola
Ke kaseera nze neeyise eh
Mukuuma nga vviivi (meeme)
Ampunyira nga dollar (dollar)
Nakigambye ne maama nze n’ankuba akaama
Yaŋambye kawoowo laavu k’okole otya!
Ne bw’osiba evvumbe bivaayo ne byeyasa
Ebyali eby’ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Biri bye twakeeka
Ekyama, twasizza ekyama
By’ebifuuse ensonga
Ekyama, twasizza ekyama
Ebyali eby’ekyama aah
Ekyama, twasizza ekyama
Twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
Ekyama, twasizza ekyama
WATCH VIDEO
ABOUT THIS SONG
Release Year : 2020
Album : Ekyama (Single)
Added By : Farida
SEE ALSO
AUTHOR
REMA NAMAKULA
Uganda
REMA Namakula is a female musician from Uganda born April 24, 1991. ...
YOU MAY ALSO LIKE