Accueil Recherche Pays Albums

Sukaali

FLASH LOVE

Sukaali Lyrics


Oli omu eyankutudde, mpulira siteredde
Omutima wagukute, era ntudde majenjegge
Nyogera nkakasa, nze gwe honey wange
Kuuma essanyu lyange, oliboborezze ddala nga matooke
Nkoleki okakase nga, nti w’otoli nze ndwaala
Kirzaa nti mukwano, gwe olimu empeke eziwonya
Nyongera ku love, enkalamatta enzitta
Omukwano gwo ogwo bambi
Bwengulaba enyonta ng’enzita
Oli wanjawulo mukwano kankubulire
Love yo yaganja eringa chips na nkoko

Gwe sukaali wange (mukwano)
Gwe ntunulidde (sukaali)
Yeki ky’otalaba, tulagangane olukundo
Gwe sukaali wange (mukwano)
Gwe ntunulidde (sukaali)
Yeki ky’otalaba, tulagangane olukundo

Nkwagala nnyo ndi omu eyakwekwata
Ndayira nwbwekiriba kki zigenda kwekyusa
Njagala nkwagale me ensi eno yewuunye, ooh ooh
Kati nno kenkutute, munange kankyakyankye
Ye love yaffe yakkute, ekutte ensi eno nejinyweza eti
Olaba emenya ne gate love yaffe yamaanyi
Nsaba twagalane nnyo nga taaba n’emindi, hii
Bitambulira wamu nga sukaali ne caayi hii
Sweet wange kinange
Bambi gwe omanyi ebyange
Obwesiggwa mbutadde eyo
Nyamba tondeka nga awo

Gwe sukaali wange (mukwano)
Gwe ntunulidde (sukaali)
Yeki ky’otalaba, tulagangane olukundo
Gwe sukaali wange (mukwano)
Gwe ntunulidde (sukaali)
Yeki ky’otalaba, tulagangane olukundo

Baby tebagezza kubuzabuza
Tuli bagumu vivre ku gitter
N’oyo ali kutabulira obutwa
Ndi bungwa okutaasa
Gwe wekka munsi enno gwemanyi
Nkoleki sweet w’otali
Wanjijja mu class eza wansi
Kati era siwendi
Oli wanjawulo omwana w’abandi hii
Ndayira sikulimba nkwagala byalaadi
Abalala nebwobogera banyumya mandaazi hii
Ngenda kwagalira ddala
Kibadugudire ddala ddala
Sinakindi baffe n’okuffa
Ffe twalaba dda

Gwe sukaali wange (mukwano)
Gwe ntunulidde (sukaali)
Yeki ky’otalaba, tulagangane olukundo
Gwe sukaali wange (mukwano)
Gwe ntunulidde (sukaali)
Yeki ky’otalaba, tulagangane olukundo

Enjoy Synced Lyrics With Our Mobile App

Download on Google PlayGet it on App Store

WATCH VIDEO

ABOUT THIS SONG


Release Year : 2020


Album : Sukaali (Single)


Added By : Farida

SEE ALSO

AUTHOR

FLASH LOVE

Ouganda

Flash love est une musicienne Ougandaise. ...

YOU MAY ALSO LIKE